Amawulire

Dr Besigye yegaanye okulwanyisa NUP

Dr Besigye yegaanye okulwanyisa NUP

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ssentebbe wekisinde ekyatondebwawo, People’s Front for Transition (PFT) Dr. Kiiza Besigye alabudde abavuganya gavumenti ku muze gwokwesalamu nenjawukana.

Besigye agambye nti okutondawo ekisnde kino, tekutekeddwa kwabuluza mu bavuganya gavumenti kubanga ekigendererwa kwekujjako gavumenti ya NRM, ngokulonda kwa 2026 tekunatuuka.

Ayogedde ku lutalo lwebigambo, olwatanfdise ku mitimbagano nagamba nti terwetagisa, eranga tebalina kigendererwa kyonna okunafuya ekibiina kya National Unity Platform.

Besigye asabye bonna abavuganya gavumenti okubeera nekirubirirwa kimu, okununula egwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *