Amawulire

Diiru y’eggaali y’omukka ya mankweetu

Ali Mivule

September 4th, 2014

No comments

Mps adress press

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala abakulu mu minisitule ekola ku by’enguudo banonyerezebweeko

Obuzibu buva ku nsimbi obusiriivu 20 obwassibwa mu kuzza obuggya entambula y’eggaali y’omukka

Basabye spiika okussaawo akakiiko akanonyereza ku bikolwa bya minisita John Byabagambi mu nteekateeka yonna.

Ababaka bawadde sipiika ennaku ssatu ng’ensonga eno agituusizza mu palamenti kubanga eggwanga lyakufiirwa ensimbi mpitirivu

Ababaka era batankana ne kkampuni eyaweebwa omulimu gw’okuddabiriza eggaali nga bagamba nti banka y’ensi yonna yagissaako akabuuza

Gavumenti yapatana ne China civil engineering construction corporation ku buwumbi wa doola 4 kyokka nga yakyuusaamu ku ssaawa envanyuma n’ekyuusa n’edda ku kkampuni ya CHEC ku buwumbi bwa doola munaana n’ekitundu