Amawulire

Difiri Kirangwa bamukalize wiiki 2

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Akakiiko ka FUFA dakakwasisa empisa kakalize difiri Ronald Kirangwa ebbanga lya wiiki 2, olwensobi zakoleddwa ku mupiira wakati wa Vipers ne Wakiso Giants, ogwali ku St Mary’s e Kitende.

Mu mupiira guno, omukwasi wa goolo ya Wakiso Giants Samson kirya yasamba bubi ku munne owa Vipers Ibrahim Orit nga byaliwo mu dakiika ye 84th.

Ronald Kirangwa goolo keeper teyamugoba ku kisaawe, ekisobyo ekyali kyetaaga kaada emyufu.

Orit, weyali yali agenda kuteeba wabula nebamukolako ekisobyo, omukommonsi wa firimu kale yalamula bubi.

Mu kiwandiiko ekyavudde mu FUFA bagamba nti kino kiteeka obulamu bwabasambi mu kabi, okukolebwako ebsiobyo ate ba difiri nebalamula bubi.

Kinajjukirwa nti difiri yoomu Kirangwa era bamuwera mu 2018 okumala emyaka, waddenga ekibonerezo kyamala nekindezebwa okudda ku myezi 6 olwensobi zeyakola mu mupiira gwa Vipers ne Express e Wankulukuku, ogwagwera mu maliri 1-1.