Amawulire

David Emong Awangudde Gold

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Munna-Uganda omuddusi wemisinde gyabaliko obulemu, eyawangula omudaali gwa silver mu mpaka za Rio Paralympics ezomwaka gwa 2016, David Emong nate awangudde omudaali gwa Gold mu misinde gya T46 mita 1500 mu mpaka za World Para Athletics Championship 2017 mu kibuga London mu gwanga lya Bungereza amakya ga leero.

Emong addukidde eddakiika 3:58:36 okuwangula Samir Nouioua owe gwanga lya Algeria ngono malidde mu kifo kyakubiri mu dakiika 3:58:78.

Emong, awangudde omudaali gwa Uganda, nga gwegusookedde ddala mu mpaka zino eza World Para Athletics championship, omulundi gwe ogwokubiri nga yetaba mu mpaka zino.

Ono ye muddusi yekka awanise bendera ya Uganda oluvanyuma lwa baddussi banne ku tiimu, okuli Christine Akullo, Sam Mubajje ne Al-Bashir Bwaga okubasuula olwa ssente ezabuze okubatuusa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *