Amawulire

Crime Preventer abbye emifaliso

Ali Mivule

April 5th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad

Nga obubbi buwanise amatanga mu bitundu bye Masaka n’ebitundu ebiriranyewo, poliisi ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okutaasa Crime preventer ku batuuze ababadde baagala okumumiza omusu.

Abatuuze balumiriza omusajja ono okubeera omubbi nti y’omu kwabo ababasuza kutebukye.

Medie Bwambale abatuuze bamukubye yenna nawulubala lwakubba mifaliso 2 nga era poliisi yemutaasizza amagombe.

Atwala poliisi ye Lukaya  Viane Birungi agamba Katonda ayambye nabatuukira mu budde wabula navumirira ekya Crime Preventer alina okuziyisa obuzzi bw’emisango ate okunyaga ku batuuze.

 

Birungi agamba  Bwambale wakugulwako gwabubbi nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *