Amawulire

Cranes tematidde Senegal

Ali Mivule

June 6th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

Ttiimu ya Uganda Cranes ne Senegal bagudde maliri mu mupiira gw’omukwano ogwazanyiddwa mu kibuga Dakar mu Senegal ku ssaawa mukaaga nga bukya.

Guno mupiira gwakubiri ogwomukwano nga Cranes eremagana nga ogwasoose bagudde maliri ne Ethiopia ku kisaawe kye Hawassa.

Wabula wabaddewo akasirikiriro okujjukira omuzanyi wa Ivory Coast Chieck Ismael Tiote eyatondokedde mu kisaawe n’afa nga batendekebwa mu ggwanga lya China.

Uganda kati yakuzanya  Cape Verde olwomukaaga luno mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2019.