Amawulire

CEC ewabudde Ssemateeka akolebwe enongosereza

CEC ewabudde Ssemateeka akolebwe enongosereza

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Olukiiko lwekibiina kya NRM olwa waggulu, olwa Central Executive Committee (CEC) lwawabudde nti ssemateeka wegwanga akolebwemu enongosereza ku nsonga zobukulembeze bwa palamenti.

Emiwaatwa gyazuddwa mu ssemateeka, oluvanyuma lwokufa kwa Jacob Oulanyah, nga ennyingo eya 82 mu ssemateeka wewagnga nobuwayiro obwagoberera yawa sipiika buyinza, era tewali mulimu guyinza kukolebwa watali.

Nampala wa NRM Thomas Tayebwa akakwungeezi akayise ategezezza bannamwulire nti olukiiko lwa CEC luwabudde ensonga eno etekebwe ku mwanjo okulongosebwa, namyuka sipiika awebwenga obuyinza okubaako emirimu gyakola sing sipiika abeera taliiwo.

Akawungeezi keggulo, CEC era yawanze eddusu ku Anita Among okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti okudda mu bigere bya Jacob Oulanya, atenga bagambye nti ekifo kyamyuka sipiika bajja kukitesaako okujjuza nga bamalirizza okuziika.