Amawulire

Byabashaija yegaanye okutulugunya abasibe

Byabashaija yegaanye okutulugunya abasibe

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole kyamakomera mu gwanga, basambazze byebabalumiriza okutulugunya abasibe.

Bino webijidde ngomubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya gyebuvuddeko yalaga ebiwundu ku mubiri gwe ku luimbe ngasinziira mu kkomera lye Kigo gyali ebyamutusibwako oluvanyuma lwokumutulugunya.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire, mu nsisinkano eyennaku 3 etudde Entebbe, ngekwata ku mbeera yabasibe, ssenkulu wekitongole kyamakomera Dr Johnson Byabasaija abiwakanyizza.

Agambye nti okutulugunya abasibe tekirizibwa ngabasinga ku basibe bano batulugunyizibwa mu kusooka nga tebanatuuka mu mikono gyabwe.

Kinajjukirwa nti nti gyebuvuddeko omukulembeze wegwanga yavaayo navumiririra ebikolwa byokutulugunya, abateberezebwa okubeera abazzi bemisango.

Mungeri yeemu, okusomozebwa kwabsibe abatera okwewaggula nokujagalala kusaanye okumalibwawo okuyita mu mateeka, agkibiina kyamawanga amagatte agalambikibwa agayitibwa Nelson Mandela Rules.

Buno bwebubadde obubaka bwomubaka wa Netherlands mu Uganda H.E. Karin Boven ngabadde mu musomo gwegumu ogubumbujjira Entebbe.

Agambye nti wakati kulwanyisa emizze gyabasibe abamawaggali, abakola effujjo nabamu okutoloka tekitekeddwa kwetobekamu bikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu.

Agambye nti waliwo obwetaavu, omuzze okugulwanyisa nobwegendereza.