Amawulire

Butalejja Kika

Ali Mivule

February 11th, 2013

No comments

Okulonda okujjuza ekifo ky’omukyala owe Butalejja kugenda mu maaso wakati mu katemba.

Abantu abamu tebasanze mannya gaabwe ku nkalala omuli ne taata w’omu ku besimbyeewo, Betty Hamba.

Jull Higenyi akedde kulonda nga balala kyokak nga bakamutemye nga bw’atasobola kulonda olw’ensonga nti erinnye teriri ku lukalala.

Mu kiro era abawagizi w’ekibiina kya FDC 8 bakwatiddwa okuli n’amyuka akulira ekibiina kino mu buvanjuba, Salaam Musumba.

Amyuka omwogezi wa poliisi,Vincent Ssekate agamba nti bano basangiddwa nga bagaba ebyoja mumiro.

Poliisi yaweze okukwata omuntu yenna agaba ssente, akuba kampeyini ku lunaku lw’okulonda kko n’okutunda omwenge okumpi n’awalonderwa.

Abeesimbyeewo bali bataano nga kuno kuliko Betty Hamba( Ind), Perusi Munaaba(Ind),Sarah Logose(Ind), Florence Nebanda(NRM) ne Felistus Namuhiriri(FDC)

Okulonda kuno kuddiridde okufa kw’eyali omubaka Cerinah Nebanda omwaka oguwedde