Amawulire

Bukenya wakusasula eza biici

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Bukenya

Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya alagiddwa okusasula obukadde 40 olw’ettaka lyeyagula mu mancoolo nga ku lino kweyassa biici ye Kitomi

Bukenya abadde yasabye dda kkooti nti ateese n’eyamuwaaba Charles Kiddu ng’ono amulumiriza okumubbako ettaka erisangibwa e Kagolomolo mu disitulikiti ye Wakiso

Bukenya ng’ayita mu munnamateeka we Wandela Ogalo agambye nti naye bamufera bwebamuguza ettaka lino kale nga naye teyalina musango

Bukenya kati asuubizza okusasula Kiddu ssente zino mu bitundu bisatu obutasukka nga 30 omwezi gwa 2014.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *