Amawulire

Bukenya aguluba na gwakubba mukyala wa munne

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

Bukenya

Kkooti etaddewo olunaku lwa nga 27 omwezi gw’omukaaga okuwulirirako omusango ogwawaabwa omusajja agamba nti eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya yamubbako omukazi

Eyawaaba ye Emmanuel Nyababyango ng’alumiriza Bukenya okumubbako mukyala we Margaret Kabasinguzi

Omusajja ono agamba nti yawa mukyala we n’amusiba n’empeta kyokka ono yamala n’amwabuulira mu mwaka gwa 2007 aawatali musango

Omusajja ono agamba nti Bukenya teyakoma awo n’amuzimbira n’amaka e Fort ng’eno kati mukazi gyeyasenga

Omusajja ono ayagala kusasulwa nsimbi zeyamalira ku mbaga gyeyawasizaako mukyala we n’obulumi bw’ayiseemu okulaba mukyala we ng’afumba mu maka malala

Omusango guli mu kkooti y’amaka eya kkooti enkulu ng’omulamuzi Percy Tuhaise y’aguli mu mitambo.