Amawulire

Buganda ereeta alipoota ku ttaka lya Mailo

Buganda ereeta alipoota ku ttaka lya Mailo

Ivan Ssenabulya

January 17th, 2022

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Obwakabaka bwa Buganda butegezezza nga bwebugenda okufulumya alipoota ejudde, ku ttaka lya Mailo mu Uganda.

Kino kyadiridde ekiteeso gavumenti kyetembeeta, okujjawo ettaka lya milo, kyebagamba nti kyekizibu eivuddeko endoliito zettaka naddala mu masekati ga Uganda.

Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda oluguddewo omwaka, Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti minisita owa guno na guli Owek. David Mpanga yawereddwa obuvunanyizibwa okubaga alipoota eno ku kibba ttaka, gyebajja okwanjulira oBuganda.

Agambye nti ekizibu kino kiri ku kuwubisa bantu okweyongedde ku nsonga zettaka, wabula alipoota ejja kwanjulwa mu Lukiiko olunaddako, olujja okutuula nga 7 omwezi ogujja.

Okusinziira ku ndagaano ya 1900, ettaka erisnga mu lya mile.

Mungeri yeemu, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akalaatidde abaami nabakungu ba Kabaka, okubeera abasaale mu kulwanyisa enguzi.

Bino abyesigamizza ku kwogera kwa Kabaka kweyakola bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 29 omwaka oguwedde.

Katikkiro agambye nti enguzi yeyolekera mu biti ebiwerako, okugeza mu kusanyaawo obutonde bwensi ngabobuyinza basirise, abagaba emirimu mu kyekubiira n’ebirara.

Kati ayagala abakungu ba kabaka okwongera amaanyi mu kaweefube wokulwanyisa omuze guno, obutamamira nsi.

Mungeri yeemu Katikkiro ajjukkiza ababaka okutwala mu maaso omulanga gwa Kabaka ogw’okusabulula eby’obulimba obusasanyizbwa abataagaliza Buganda ku mitimbagano.