Amawulire
Buganda ekungubagidde omugenzi Mukwano
Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bukubagizza ab’enju y’omugenzi AMIRALI KARMALI nannyini kampuni ya Mukwano group of companies.
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya, Prof Twaha Kigongo Kaawaase yatuusizza obubaka kulw’obwakabaka.
Owek Kaawaase yeebazizza Mzeeyi Karmali olw’obuwagizibwe eri obwakabaka mu mbeera zonna.
Mu bubakabwe, Owek Kaawaase asabye abatandika business bazitambulize ku musingi gw’obwerufu bafube okulaba nga business zibeerawo omutandisi nebwaba nga avudde mu bulamu bwensi eno.
Mu ngeri yeemu Owek Kaawaase asabye abalina business za family, bayigirize abaana baabwe oba ab’enganda emirimu bwegitambula kisobozese business okugenda mu maaso ate naabo abasembezeddwa bagoberere ebigendererwa bya business eyo.
Mzeeyi Amirali Karmali yafa ku lw’okusatu lwa week eno ku myaka 89.