Amawulire

Bodaboda zakuwandiisibwa

Ali Mivule

August 22nd, 2013

No comments

bodabodas

Ekitongole  kya KCCA kimalilizza entegeka z’okuwandikka abavuzi ba bodaboda bonna abakolela mu Kampala nga omulimu gwo okutandika okubawandika gutandika nga 9 omwezi ogugya.

Akulira emilimu mu kitongole kya KCCA Jennifer Musisi agamba nti bamalirizza okukwatagana ne polisi ye bidukka ,abakungu mu minisitule ye bye ntambula kko n’ebibina bya bavuzi ba bodaboda okulaba nga omulimu guno gugenda bulungi.

Musisi agamba nti bagenda kuletawo uniform ez’enjawulo okusinzira omuvuzi wa bodaboda ekifo ky’akoleramu

Wabula bino we bigudde mu mattu ga bakulembezze be kibina ekitwala abavuzi ba bodaboda abakolela mu Kampala ekya Bodaboda 2010 nebawanda omuliro