Amawulire

Bobiwine avumiridde ekyabakuuma ddembe okutta abagambibwa okuba abatujju

Bobiwine avumiridde ekyabakuuma ddembe okutta abagambibwa okuba abatujju

Ivan Ssenabulya

November 20th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale wékibiina kyé byóbufuzi ekya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu aka Bobiwine, avumiridde ekya bakuuma ddembe okuttirawo abateberezebwa okuba abatujju mu ggwanga.

Kino kidiridde omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, okuvaayo nakakasa nti abakuuma ddembe basse ateberezebwa okuba omutujju Sheikh Abbas Kirevu abadde abeera e Nsagi mu disitulikiti yé Mpigi bweyagezako okugaana okukwatibwa.

Ne kulwokubiri lwa ssabiiti eno oluvanyuma lwa boomu bbiri okubwatuka mu Kampala, abakuuma ddembe bakuba amasasi omusajja eyategerekekako erya Moze omutuuze we Wamala Katooke agambibwa okuba omutujju era poliisi mu kwekebejja amakage egamba yasangamu ebikola boomu.

Wabula mu kiwandiiko kyafulumiza Kyagulanyi, agambye nti ekyokugyawo abateberezebwa okuba abazzi be misango nga kyesigamizibwa ku butagala ku bakwata kisanye okunonyerezebwako.

Era awakanyiza ekyokubatta awatali ku batwala mu mbuga za mateeka nagamba nti kino kiwa bannauganda okubuusabuusa engeri abakuuma ddembe gye bakolamu emirimu gyabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *