Amawulire

Bobi wine bamuwawabidde

Ali Mivule

May 26th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Omu ku balonzi era nga yesimbyewo ku kifo ky’omubaka wa Kyadondo East addukidde mu kkooti enkulu nga ayagala akakiiko k’ebyokulonda kayimirize byekaliko eby’okuzza obujja enkalala z’abalonzi.

Muwadda Nkunyingi y’awawabidde akakiiko k’ebyokulonda,omuyimbi BobiWine wamu ne ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura nti bakutte bubi enteekateeka eno.

Muwadda agamba nti nga  24th May 2017 yalaba agenti wa Bobiwine nga akola omulimu gw’akakiiko k’ebyokulonda ogw’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi nga akuumibwa poliisi ekintu ekimenya amateeka.

Muwada ayagala kkooti eyise ekiragiro ekikugira ssabapoliisi ne Bobi wine obuteyingiza mu mulimu gw’akakiiko k’ebyokulonda ogwokutegeka okulonda okwamazima.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *