Amawulire
Bobi bamwongedde obudde okutekayo okusaba okujjayo omusango
Bya Ruth Anderah ne Ivan Ssenabulya
Kooti ensukulumu eyongezaayo okusaba okujjayo omudsango gwa Robert Kyagulanyi Ssentamu, gweyali yawaaba ngawakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni, emisanja ekyomukaaga.
Amakya ga leero Kyagulanyi okuyita mu bannamateeka be, abakulembeddwamu Medard Lubega Segona bataddeyo okusaaba bajeyo omusango.
Kati kooti eyongezaayo omusango guno, wiiki ejja nga bawereddwa obudde okutekayo okusaba kwabwe mu bujjuvu, nokuwa akadde omusango okutekebwa mu kyapa oba gazeti.
Kyagulanyi, yalangrirdde nti bagenda kujjayo omusango okugutwala mu kooti eyabantu babulijjo, kubanga eno tebagenda kufunayo bwenkanya.
Ono abadde alumiriza Ssabalamuzi we gwanga Alfonso Owinyi Dollo obwa kyekubiira.
Mu biralala ebibadde mu kooti, Ssabawandiisi wa NRM Justine Ksule Lumumba, alumirizza Kyagulanyi okwagala okubakumira mu kooti nga bewuuba.
Agamba nti buli kimu bakikola kasoobo era ku ssaawa esembayo.
Wabula munnamateeka Ssegona amwanukudde, nti teyawabirako, yye yawabira Museveni.