Amawulire

Bobi bamuyise yenyonyoleko mu kooti

Bobi bamuyise yenyonyoleko mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ye Nakawa eyisizza ebibaluwa ebiyita, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, okulabikako ayanukule emisango egimuvunanibwa, egyokuwa amawulire agobulimba eri gavumenti.

Omusngo gwawaabwa munnamateeka Hassan Male Mabirizi, nga 12 January 2022.

Bino byesigamiziddwa ku driving permit eyamuweebwa minisitule yebyentambula, ngagamba nti yategeeza nga bweyazalibwa nga 2 February 1982 mu kifo kyanga 2 February 1980 nga bwekiri ku mpapula ze ez’obuyigirize.

Mabirizi agamba nti omusango yaguzza mu mwaka gwa 2017 e Kyambogo, ekifo webagabiranga driving permit wansi wa minisitule yebyentambula.

Kati Bobi Wine atekeddwa okweyanjula eri kooti nga 17 February 2022 okwenyonyolako.