Amawulire
Bobi alagidde bannamateeka omusango bagujjeyo
Bya Ritah Kemigisa
Eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine alagidde bannamateeka be okujjayo omusango mu kooti ensukulumu, gwabadde yawaaba oguwakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni owa NRM, ku kisanja ekyomukaaga.
Kyagulanyi abadde ayagala kooti esazeemu okulondebwa kwa Museveni, ngagamba nti okulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January kwalimu okubba akalulu nebirala ebitagoberera mateeka.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire, Kyagulanyi agambye nti abessiga eddamuzi bolesezza nti tebasobola kwetengerera, naye bakolera ku ntoli za Museveni.
Kyagulanyi agambye nti ensonga bagenda kuzitwala mu kooti, eyabantu babulijjo basalewo, wabulanga mu kino agambye nti tebawagira bikolwa bya ffujjo.
Ategezezza nti baakulangirira eri bann-Uganda ekiddako.
Bino webijidde ngabessiga eddamuzi, olunnaku lwe ggulo begaanye obwa kyekubiira byebabalumiriza, nti ssabalamuzi alina ekolagana eyomunda ne Museveni nti kooti tejja kusala mazima.
Ebimu ku byebabade balumiriza Ssabalamuzi Owinny Dollo, kwekuba nti ye, ne banne bwebakulembera essiga eddamuzi, baliko ensisinkano eyekyama gyebetabamu ne Mseveni, gyebuvuddeko mu kiseera kyekimu ng’omusango gwa Kygulanyi gugenda mu maaso.
Bbo aba NRM baalabudde Kyagulanyi nti tagezaako, okujjayo omusango kubanga, baakumutanza ensimbi mpitirivu songa nemitendera gitekeddwa okugobererwa.
Okulabula kuno kwakoleddwa munnamateeka wa NRM Oscar Kihika olunnaku lwe ggulo.