Amawulire
Bizonto biyimbuddwa ku kakalu
Bya Ruth Anderah,
Bannakatemba abamanyiddwa nga Bizonto basimbiddwa mu kkooti eyokuluguudo Buganda ne bavunanibwa omusango ogwokutumbula embeera yobusosoze mu mawanga noluvanyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti
Ku bano kubadeko Serwanja Julius, Mbabali Maliseeri, Gold Ki-Matono ne Ssabakaki Peter.
Bwe balabiseeko mu maaso gómulamuzi Asuman Muhumuza omusango ogubasomeddwa bagwegaanye.
Oludda oluwaabi lugamba nti abana bano mu mwezi ogwomukaago omwaka oguwedde bafulumya akatambi ku mikutu gyomutimbagano akayinza okuvaako bannauganda okwesalamu.
Bano bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 10 buli omu nababeyimiridde balagibwa okusasula emitwalo 50 ezitali za buliwo
Bakudda mu kkooti nga April 8th 2021 okwongera okuwulira omusango gwabwe.