Amawulire

Bisopu Kazimba Mugalu ye Ssabalabirizi Omugya

Bisopu Kazimba Mugalu ye Ssabalabirizi Omugya

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya

Olukiiko lw’abalabirizi abe Kanisa ya Uganda, lulonze omulabirizi wa diocese ye Mityana Dr. Steven Kazimba Mugalu nga Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda omugya.

Ono alondeddwa mu ttabameruka wabalabirizi agenda mu maaso, ku wofiisi zaabwe ku lutikko e Namirembe.

Diini we kanisa ya Uganda Rt. Rev. Edison Irigei, yalangiridde omulabirizi Kazimba Mugalu.

Ono agambye nti balabirizi banne 2/3 bamulonze mu kalulu akabeera akekyama, okusinziira ku ssemateeka we kkanisa.

Kati ono yagenda okudda mu bigere bya Ssabalairizi Stanely Ntagali, era waakutuzibwa mu Decemba ku nkomerero y’omwaka guno.

Bishop Kaziimba Mugalu yazalibwa nga 15 August 1962 mu district ye Buikwe e Najja, Besweri Kaddu nomukyala Jessica Nanyonjo.

Yalokoka mu 1984, nafuuka omukulistaayo.

Yatuzibwa nga Bishop we Mityana nga 26 mu October wa 2008 ekifo kyamazeemu emyaka 11.

Alina Diploma mubye diini okuva mu Uganda Christian University, Mukono, alina Masters era mubye diini okuva mu ttendekro lya Western Theological Seminary, Holland, Michigan mu gwanga lya America.

Bishop Kazimba mufumbo n’omukyala Margaret Naggayi Bulya, omusabi era omwegayirizi, balina abaana balenzi 4 nabazzukulu 2.

Omulabirizi Kaziimba amanyikiddwa nnyo ngomubuliizi wengiri, mu ns yonna.

Mungeri yeemu omuwandiisi wa Uganda Joint Christian Council Constantine Mbonabingi atenederezza abadde Ssabalabiriiz we kanisa ya Uganda kitaffe mu Katonda Stanley Ntagali olwokugatta abakristaayo okuva mu nzikiriza ezenjawulo.

Ono agambye nti nobumalirivu bwe okuwummula, aweeyo wofiisi mu mirembe kabonero kalungi, era kigwana kibeere kyakulabirako neeri abakulembeze abalala ku mitendera gyonna.