Amawulire

Beti Kamya akakasiddwa nga Kaliisoliiso wa Gavt omuggya

Beti Kamya akakasiddwa nga Kaliisoliiso wa Gavt omuggya

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa omukulembeze wéggwanga kakakasizza okulondebwa kweyali minisita w’ebyéttaka Beti Kamya, ku kifo kya kalisoliiso wa gavumenti,

Kamya yeyanjudde eri akakiiko olwaleero, akabadde kakubirizibwa amyuka ssentebbe waako Anita Among.

Mu July w’omwaka guno, omukulembeze wegwanga yalonda Beti Kamya okudda mu bigere byomulamuzi Irene Mulyagonja, eyalondebwa okutuula ku kkooti ejjulirwamu.

Bangi bavaayo okwemulugunya ku kulondebwa kwa Kamya, kubanga ssi mulamuzi atenga talina byafaayo na bukugu mu byamateeka.

Kinajjukirwa nti Kamya, yeyatandikawo ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Uganda Federal Alliance era yavuganyako ku bukulembeze.