Amawulire

Besigye mukwatte, Kisekka agaddwa

Bernard Kateregga

June 20th, 2013

No comments

Besigye on police truck

Eyali akulira ekibiina kya FDC, Dr. Kiiza Besigye, akwatiddwa poliisi. Bamusanze mu kikuubo nga kigambibwa nti abadde asalinkiriza agenda mu katale k’ewa Kisekka, ayogerere mu basuubuzi.

Akulira poliisi mu Kampala James Ruhweza agamba nti Besigye atwaliddwa ku kitebe kya poliisi mu Kampala gy’akuumirwa kati.

Ko akatale kewa Kisekka kagaddwa ebanga eritali gere era nga kati baamaje bebakeebulungudde.

Abakulira akatale kano ne poliisi basoose kwevumba kafubo nebasalawo kino.

Okusinziira ku sentebe wakatale kano  Robert Kisembo, bakiriziganyizza okugalawo akatale kano okusobola okuzza embeera munteeko , nokunyweeza ebyokwerinda.

Ebyo bibadde bikyaali bityo mu kavuyo akabaddewo, baasi ebadde efuumuka nga akaweewo nekoona omuvuzi wa bodaboda ategeerekese nga  Ahmed Kizito nafiirawo ku luguudo lya Kyaggwe.