Amawulire

Besigye azeemu okusindikibwa ku alimanda mu komera e Luzira

Besigye azeemu okusindikibwa ku alimanda mu komera e Luzira

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2022

No comments

Bya Ruth Andearah, 

Eyali akulembera ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye kooti ya Buganda Road temuwadde kweyimirirwa ngomulamuzi agambye nti tewali bukakafu nti taddemu kuzza emisango gyegimu.

Omulamuzi we ddaala erisooka Asuman Muhumuza agambye nti Besigye ne Lubega Mukaku bwebavunanibwa nga bwebakwatibwa ku misango gyegimu egyokukuma omuliro mu bantu, mu wiiki bbiri emabega.

Omulamuzi agambye nti alina ekkatala okukuuma ekitiibwa kya kooti era tayagala kwetobeka mu byabufuzi byababantu bano babairi kwekusalwo okubatwala okubzaayo ku alimanda mu kkomera e Luzira nate okumala wiiki 2.

Besigye ne Mukaku bazeemu nebakwatibwa ku lunnaku Lwokubiri mu kibuga wakati, nate nga bawakanya okulinnya kwebbeyi yebintu.

Besigye yali yakwatibwa ku misango gyegimu, kooti yeemu nemuterawo obukwakulizo obwokusasaula obukadde 30 kyeyawakanya mu kooti enkulu era yeyamuyimbula.

 

/////////////////