Amawulire

Besigye azeemu okukwatibwa

Besigye azeemu okukwatibwa

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2022

No comments

Eyali akulembera ekibiina kya FDC Dr Kizza Besigye nate akwatiddwa poliisi bwabadde ava awakaawe e Kasangati mu Wakiso.

Besgigye baali baamuggalira mu maka ge wiiki ewedde bweyaddamu okutambula ngawakanya okulinnya kwebbeyi yebintu.

Amakya ga leero Besigye akaladde nalayira nti tajja kugondera biragiro byakubeera mu nnyumba ngomusibe.

Besigye nga yakulembera ekisnde kya People’s Front for Transition (PFT) abadde ayagala kutambula okugenda mu tawuni e Kasangati.

 

Agezezaako okulwana okufuluma ne bamukwata ne bamuteeka mu kamotoka, akasimbye wabweru wamaka ge.