Amawulire

Besigye alabudde gavumenti ku by’enjala

Ali Mivule

April 27th, 2017

No comments

Eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti Dr Kiiza Besigye agamba okukwata obubi eby’obufuzi by’aggwanga kyekivuddeko embeera y’obunkenke eriwo mu kiseera kino .

Nga ayogerako ne bannamawulire ku ofiisi ye wali ku luguudo lwa Katonga, Besigye ategezezza nti olunaku lw’eggulo palamenti yaleese ekiteeso okulangirira  akaseera akakazigizigi olw’enjala eri bannayuganda obubi n’ategeeza nga enjala ssikyekizibu ekikulu nga  eby’okwerinda biri yegeyege n’ebyenfuna bidobonkanye.

Besigye agamba bannayuganda tebalina buyinza ku byabugagga byabwe nga n’obuyinza buli mu bantu ab’olubatu kale nga sibyakukyuka okukgyako nga waliwo enkyukakyuka mu buyinza.

Besigye ategezezza bbo nga ekibiina baakugenda mu maaso n’okugabira bannayuganda abali obubi emmere.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *