Amawulire

Bebakekejjula mu mbugo bagala kubagatta ku baliko obulemu

Bebakekejjula mu mbugo bagala kubagatta ku baliko obulemu

Ivan Ssenabulya

January 27th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Ebbiina lyabakazi, abagamba nti bakolebwako ebikolwa byokubakekejjula mu mbugo mu buvubuka, bongedde okweyiwa ku wofiisi yomubaka wa gavumenti mu disitulikiti ye Bukwo.

Bano bagala bagattibwe ku lukalala lwabaliko obulemu, basobole okuyambibwa gavumenti.

Kino kikakasiddwa omubaka wa gavumenti e Bukwo, Samuel Hashaka Mpimbaza wabula agambye nti kino kijja kutunulwamu minisitule yekikula kyabanti, kubanga kyamususseeko.

Betty Cherop omu ku bakolebwako ebikolwa bino, agambye nti obulamu bwabwe tebukyali kyekimu, okuva lwebatusibwako obulemu buno.

Gavumenti yayisa etteeka eriwera okusala abawala nabakazi mu mbugo, mu mwaka gwa 2010, ngomusango guliko ekibonerezo kyakusibwa emyaka 10.

Mungeri yeemu kino era kiemanya mateeka ku mutendera gwensi yonna.