Amawulire

Bebagoba e Naguru-Nakawa baakugumba ewa Museveni

Bebagoba e Naguru-Nakawa baakugumba ewa Museveni

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Magembe Sabiiti

Abaali abatuuze mu esatate ye Nakawa-Naguru basazeewo okwessa muddene, okwolekera ku maka agobw apresidenti nga bagamba bagala kusisinkana mukulembeze wa gwanga, okubanja ssente zaabwe ezokubaliyirira.

Gavumenti kinajjukirwa mu mwaka gwa 2011 yasindikiriza abantu abasoba mu mitwalo 3 okuva ku ttaka lino, okulikulakulanya nga babsubiza okubazimbira amayumba agaomulembeze, wablanga nokutuusa olwaleero tewali kyakolebwa okujjako ensiko eriwo.

Ssentebbe wabantu bano Simon Baringo agambye nti batendewaliddwa, kubanga bawandiise amabaluwa eri buli kitongole kya gavumenti, naye tebayambiddwa.

Bagamba nti bawandikira nomukulembeze we gwanga naye tebafunaga kwanukulwa.

Ate mungeri yeemu omubaka we ssaza lye Buyaga East mu palamenti Bannabaasi Tinkasimire anenyezza gavument, olwobutakola kimala okulwanyisa ekibba ttaka mu gwanga ekivirideko abantu bangi okusindikirizibwa nebafuuka emmombozze okwabwe.

Tinkasimire nga memba wa NRM ekibiina ekiri mu buyinza yalondebwa ngomukwanaganya wekisinde kya People Power bitundu bya Bunyoro, wabula agamba nti abantu bangi mu bitundu bino abagagga babagobye ku bibanja byabwe, wabulanga agamba nti baakuyita mu kisinde kya People Power balwanyisa ekibba ttaka.