Amawulire

BCU baakutondawo ebifo webakunganyiriza emwanyi

BCU baakutondawo ebifo webakunganyiriza emwanyi

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Bugisu Cooperative Union (BCU) bakutnadika okutondawo ebifo, mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo, webakunganyiza emwanyi.

Kino kigendereddwamu okwongera amaanyi mu mirimu gyabwe, nokutaasa abalimi ababaddde babbibwa ba kayungirizi.

Kino kyatukiddwako mu ttabameruka wekibiina kyonbwegassi kino, eyatudde mu Industrial City Division mu kibuga e Mbale.

Ebifo bino ziyite zi ofiisi zekibiina bagambye nti zigenda kutekebwa e Sironko valley, Bugusege, Lambuli, Upper Central, Lower Central, Bubulo, Manafwa, Tsutsu ne Lwakhakha.

Minisita webibiina byobwegassi, Fredrick Ngobi Gume, yateabye mu ttabameruka ono, era nalabula abanatu abaloopaloopa nga bawanaknay emirimu gyebiina, songa ssi ba memba nti bakikomye.

Agambye nti bano bandiba nga blina ebigendererwa ebyokugotaanya emirimu, wabula nasiima nokutendereza obukulmbeze bwa ssentebbe Nathan Nandala.