Amawulire

Bbomu esse omuntu e Nakaseke

Bbomu esse omuntu e Nakaseke

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakugu mu byokwerinda bavuddeyo okubaako byebanayonyola ku kubwatuka kwa bbomu okweyongedde mu gwanga, mu nnaku entono eziyise.

Mu njega eno mufiriddemu okusinga baana, nabalala abwerako neblumizibwa.

Kati emisanga ga leero, waliwo bbomu endala ebwatuse netta omuntu omu e Kapeeka mu disitulikiti ye Nakaseke, ngerumizza nabantu abalala 4.

Olunnaku lweggulo abaana, okwabadde owemyaka 5 nomulala owemyaka 6, balumiziddwa bbomu gyebabadde bazanyisa era bweyabwatuse mu disitulikiti ye.

Kinajjukirwa, wiiki ewedde waliwo bbomu eyabwatuka e Nakaseke, netta abaana 3.

Bwabadde ayogerako naffe omukugu mu byokwerinda, Fred Egesa agambye nti gavumenti esaanye okuvaayo okukola kyamangu, okulwanyisa embeera eno.

Agambye nti bannYuganda basaanye okukumibwa, wabula kino agambye nti kisoboka kubanga bbomu ezimu bwezirwa mu kifo zisirika naye olwemeera eberawo zisobola okuzukuka.

Kino abamu bakitunuliira okuba nti bubenje obwabulijjo, olwa bbomu ezalekebwa mu bitundu ebyo, wabulanga waliwo okutya olwobulubaganyi bwa bbomu ezategebwa abatujju gyebuvuddeko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *