Amawulire

Bataano bateberezebwa okubeera ne Marburg

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Ebola dead bodies

Abalwadde 5 abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg bakyayawuddwa .

Babiri bali mu ddwaliro ekkulu e Mulago gyebaayawuddwan nga abasatu bali Ibanda n’Entebbe.

Minisita omubeezi ow’ebyobulamu avunanyizibwa ku bujanjabi obusookerwako , Sarah Opendi era asambazze ebigambibwa nti abaafudde e Bukwo ne Mubende baafudde Kirwadde kya Marburg.

Opendi agamba eyafudde e Mubende yanwedde mwenge munji ogwamusse nga ate ow’e Bukwo yafudde kilwadde kya Mutima.

Minisita okwogera bino abadde afuna busimu 15o obuweereddwayo kampuni y’amassimu eya Airtel Uganda.

okusinziira ku w’ebyamateeka mu Airtel  Denis Kakonge,amassimu gano gakweyambisibwa okuloopa omuntu yenna ateberezebwa okubeera n’ekilwadde kya Marburg nga era kuliko Airtime.

Marburg yakatta omuntu omu mu ggwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *