Amawulire

Basunsula mu balamuzi

Ali Mivule

May 14th, 2013

No comments

Judges

Okusunsula mu balamuzi abalondebwa omukulembeze w’eggwanga gyebuvuddeko kukyagenda mu maaso,

 

Asooseewo ye mulamuzi Stella Arach Amoko okuva mu kooti y’okuntikko

 

Ono addiddwaako Amos Twinomwijuni nga naye wa kooti y’okuntikko.

Bano bagenda kuddibwaako omulamuzi Solome Bbosa ne Richard Buteera aba kooti ejulirwaamu,

 

Okunsunsula kuno kwakumala ennaku ssatu nga wekunagweera ng;abantu 28 beebasunsuddwa

 

Bano balondebwa mu kaseera nga buli omu alajaani olw’abalamuzi abatawera ekisibye emilimu.