Amawulire

Bassentebe e Mukono babanja

Ali Mivule

June 20th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ba ssentebe b’amagombolola e 15 agakola district ye Mukono bagumbye ku kitebbe kya district ye Mukono, okuva akawungeezi akayise okubanja ensimbi eziddukanya amagombolola zebagamba nti tezinabweebwa songa omwaka gwebyensimbi gugenda kuggwako.

Bano nga bakulembeddwamu ssentebe ggombolola ye Kasawo, Badru Kafumbe bategezezza nti bamanyiiko nti ensimbi  zino eziva waggulu mu gavumenti zajja dda naye zikyalemedde ku district.

Kati bano babadde bagala kulaba  akulira abakozi, George Ntulume wabula nebatamulaba.

Bagambye nti bwebatayise mbalirira banaaba bamenye amateeka era eggombolola zinaaba zolekedde okugwa.

Wabula oluvanyuma bwetutukiriddeko George Ntulume agaamnye okwogera nabamawulire.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *