Amawulire

Bannayuganda banunuddwa

Ali Mivule

December 30th, 2013

No comments

South Sudan women

Bannayuganda abasoba mu 750 beebanunuddwa okuva mu ggwanga lya South Sudan

Abanunuddwa bajjiddwa mu kibuga Bor gyebabadde baagumba ku nkambi y’ekibiina ky’amawanga amagatte

Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti baasi zeeziyambyeeko okusomba abantu bano era nga zakusigala nga zikola kyekimu.

Ono agamba nti bannayugaanda abali mu bifo omuli okulwana bamaze okuweebwa amagezi okusigala mu mayumba munda oba okuddukira mu nkambi ‘zekibiina ky’amawanga amagatte.