Amawulire

Bannauganda abakubi be bikonde abakiika mu mpaka za Olympics bawanduse.

Bannauganda abakubi be bikonde abakiika mu mpaka za Olympics bawanduse.

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2021

No comments

Bya Lukeman Muteesaasira

Bannauganda abakubi be bikonde abakiika mu mpaka za Olympics bonna bawanduse.

Kino kidiridde Musa Bwoji okuwangulwa munnansi wa Georgia Eskar-han Madiev.

Bwoji nga yavudde mu round 32 tasobodde kumala mpaka zino na buwanguzi bwalemeredwa okuwangula mu round 2 ezisembyeyo

Ono lyelibadde essuubi lya Uganda erisembayo oluvanyuma lwa Catherine Nanziri okuwanduka mu mpaka zino ku lunaku olwe Sunday ate ne David Ssemujju yawandusse olunaku lweggulo

Kati Uganda esigaza abazannyi 22 bokka mu mpaka Olympics eziyindira mu kibuga Tokyo e japan