Amawulire

Bannanyini woteeli e Mukono begasse ku kawefube wokulwanyisa Covid

Bannanyini woteeli e Mukono begasse ku kawefube wokulwanyisa Covid

Ivan Ssenabulya

October 2nd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, 

Bannanyini mawoteeri mu disitulikiti ye Mukono bakwataganye ne gavumenti mu ntekateeka ezokugema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Basazeewo okuggulawo woteeri zaabwe nebifo ebisanyukirwamu, bikozesebwe okugemeramu abantu.

Joseph Mugisha owa Pearl Resort Hotel-Mbalala Mukono agambye nti woteeri zirina enkizo okuyambako gavumenti obutasasaanya nnyo okupangisa ebikozesebwa nga weema, obutebe n’ebirala.

Kino era agambye nti kyakuyamba abantu obutatambula ngendo mpanvu nokwewala omumujjuzo gwebasanga mu bifo omugemerwa.

Ssentebe w’olukiiko olulwanyisa ssenyiga omukambwe e Mukono, omubaka wa gavumenti Fatumah Nabitaka Ndisaba asabye nabo betabe mu kubunyisa engiri ku kugema.

Asabye buli muntu okukubiriza munne yegemese ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *