Amawulire

Bannansi ba South Sudan bongedde okuyingira Uganda mu bubba

Bannansi ba South Sudan bongedde okuyingira Uganda mu bubba

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga, balaze okutya ku muwendo gwabansi ba South Sudan abyongedde okuyingira egwanga nga bayita mu buwunjuwunju, ku nsalo mungeri emenya amateeka.

Mu mwaka gwa 2020, omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira ensalo ziggalwe, entekateeka eyalubirirra okutagfira okusasaana kwa ssenyiga omukambwe.

Kino kyali kitegeeza nti wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga yayimiriza okwaniriza abnoonyi bobubudamu.

Wabula wofiisi yeemu, egamba nti waliwo bebazudde ababadde bayingira mu gwanga mu bubba.

Julius Kamuza, akulira okutegekera emponzi, Palabek Refugee Settlement Commandant mu distulikiti ye Lamwo ategezezza banaffe aba Daily Monitor agambye nti kino kyabulabe eri ebyokwerinda byegwanga.

Agambye nti kibateeka mu buzibu, kubanga abamaze okuyingira kibeera kizibu gyebali okubagobaganya, okuva mu gwanga.

Agambye nti abasing bayita mu bifo ebyenjawulo mu disitulikiti ye Moyo ne Lamwo.