Amawulire
Bannamawulire tebamatidde nebya kooti yamagye
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ekirera eddembe lyabanamawulire, Human Rights Network for Journalists Uganda bagamba nti ssi bamaivu nebiboerezo ebyawereddwa abajaasi abakuba banamwulire.
Kooti yamagye eya wansi, olunnaku olwe ggulo yasingsizza abajaasi 7, emisango gyokweyisa mungeri etagwanidde nokwolesa obukambwe ku bantu babulijjo, era nebaweebwa ebibonerezo wakati wemyaka 60 ku 90.
Bannamwulire bano babakuba emikuza nyana, nabamu bakyanyiga biwundu bwebaali bakwata amawulire ga Robert Kyagulanyi, eyabadde agenze okuloopa ekiwamba bantu okuli abawagizi be abazze babuzibwawo.
Bino byali ku wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddembe lyobuntu e Kololo.
Bwabadde ayogerako naffe, ssenkulu wa HRNJ Uganda Robert Ssempala agambye nti ebibonerezo ebyabawereddwa bbyarusaago.
Olunnaku lwe ggulo, omuddumizi wamagye ge gwanga Gen David Muhoozi yetonze era nasubiza okusasula ebimu ku bisale eri banamawulire abakosebwa.