Amawulire

Bannamateeka bawandikidde aba EOC ku byenjigiriza ebiri Buvanjuba námambuka géggwanga

Bannamateeka bawandikidde aba EOC ku byenjigiriza ebiri Buvanjuba námambuka géggwanga

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira bannamateeka ki network of Public Interest Lawyers kiddukidde mu bakakiiko akavunanyizibwa ku bwenkanya aka Equal Opportunities commission nga kyagala bakake gavt okulongoosa ebyenjigiriza ebiri obubi mu bitundu ebyobugwanjuba námambuka geggwanga.

Bannamateeka bano bagamba nti okusinziira ku kunonyereza kwabwe ebitundu bino byombi abayizi bakola bubi nyo mu bigezo ebyakamalirizo ebyokyomusanvu.

Wabula kino bakitadde ku mbeera eyobwavu ne mbera embi abasomesa mwebakolera emirimu gyabwe.

Bwabadde akwasa abakakiiko ekiwandiiko kyokwemulugunya kwabwe, akulembeddemu banne Najib Kasole, agambye nti buvunanyizibwa bwa gavumenti okugojoola obuzibu buno.

Ono agamba nti singa embeera eno tenogerwa ddagala nga bukyali wakusigalawo omuwatwa munene eri abayizi abasomera mu bibuga nábomu byalo.