Amawulire

Bannamateeka ba Kyagulanyi tebalina layisinsi okuwoza

Bannamateeka ba Kyagulanyi tebalina layisinsi okuwoza

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Okuwulira okusaba kwa Robert Kyagulanyi Ssentemu, eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga tekutandis lwaleero, ngenzimu ku nsonga eziremesezza, kizuuse nga bananamteeka ba Kyagulanyi abakulemberwamu Medard Lubega Ssegona, layisinsi zzabwe ezibakiriza okuwoza zagwako.

Kati ssabalamuzi we gwanga, omulamuzi Alfonse Owiny-Dollo abawadde olukusa bagende ewomuwandiisi wa kooti, babafunire certificate ezekiseera, ezibakiriza okukola ezinakgwako nga 18 March 2021 okubasobozesa okuwoza omusango guno.

Kiri mu mateeka, nti buli munnamateeka atekeddwa okusaba eri akakiiko aka Law council, okuzza obugya certificate ye.

Mu kusaba kuno, Kyagulnyi ayagala bamukirize ajeyo omusango gweyawawabira Yoweri Museveni ngawakanya okuondebwa kwe.

Kyagulanyi yasezeewo okujjayo omusango nga yemulugunya ku kiwamba bawagizi be, okubatulugunya ne kyekubiira wa kooti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *