Amawulire

Bannakyewa basabiddwa okwegatta

Bannakyewa basabiddwa okwegatta

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Eyaliko senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya Forum for Democratic Change Dr Kiiza Besigye asabye buli akwatibwako ensonga yokulwanirira eddembe lyobuntu okukikola awatali kutya.

Ono okwogera bino abadde ayogera ku kya gavt okuyimiriza emirmu gye bibiina byobwannakyewa 54 ku byekuusa ku butagondera biragiro.

Ekitongole kya gavt ekirondoola emirimu egikolebwa bannakyewa mu ggwanga ki NGO bureau kyategeeza nge bibiina bino bwebyalemererwa okyanja enyingiza yabyo nga amateeka bwegalagira.

Besigye agamba nti ebibiina bino okuggalwa era bibadde bikolera mu bunkenke wabula nabinenya okutalengera wala eyinza okubitukako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *