Amawulire

Bannakyewa balajanye ku bukwakulizo

Bannakyewa balajanye ku bukwakulizo

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ebibiina byobwannakyewa bikubye enduulu eri gavumenti ekendeeze ku bukwakulizo bwebateekako ebikosa emirimu gyabwe mu ggwanga.

Okusinziira ku mukulembeze wa Defenders protection Initiative Yona Wanjala, mu biragiro gavumenti by’erina okulowoozako okusazaamu, mwe muli engassi ya bukadde bwa sillingi 2 ezisasulwa ebibiina by’obwannakyewa bwe biremererwa okuweereza ebiwandiiko byabwe buli mwezi mu kitongole kya gavt ekirondoola emirmu gya bannakyewa.

Bino abyogeredde mu lukiiko bannakyewa mwebasinzidde okwogera ku bizibu ebibasomooza mu maaso gaabo ababalungamya.

Yona abikudde ekyama nti ebibiina ebitali bya gavumenti kumpi 50 biggaddwa olw’okulemererwa okugoberera amateeka gano.