Amawulire

Bannakyewa baanirizza eky’okusala ku mbalirira z’ebitongole

Bannakyewa baanirizza eky’okusala ku mbalirira z’ebitongole

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ebitongole byobwnakayewa byanirirzza entekateeka ya gavumenti, okusala ku mbaliririra yebitongole byayo nezi minisitule.

Kino gavumenti egemba nti kigendereddwamu okukendeeza ku nsasanya etetagisa mu mwaka gwebyensimbi 2021/22.

Omuwandiisi wenkalakkalira mu minisitule yebyensimbi eranga ye muwandiisi wegwanika lyegwanga Ramathan Ggoobi, yagambye nti baasobodde okusala obuwumbi 203 nobukadde 400, ku ssente okusinga ezibaddenga zikozesebwa okutambula kuno ne bweru wegwanga, okutegeka enkungaana nebirala.

Kati bwabadde ayogerako naffe, akulira ekitongle kya Southern and Eastern African Trade Institute oba (SEATINI) nga ye Jane Nalunga, era asabye gavumenti esale ku ssente empitirivu ezikozesebwa okubezaawo abakulembeze bakendeeze neku muwendo gwa palamenti nezi ditulikiti.

Agamba ssente ezibadde zikozesebwa muno, zisaanye zitekebwe mu mirimu gyebyobulimi, ebyobusubuzi namakomero.

Mungeri yeemu, akulira ekitongole kya Civil Society Budget Advocacy Group nga ye Julius Mukunda agambye nti ssente endala zikyetaaga okusala, zikozeebwe okugula eddagala erigema ssenyiga omukambwe.