Amawulire

Bannaddiini basabye abaana bakuumibwe okuva ku bisiyaga

Bannaddiini basabye abaana bakuumibwe okuva ku bisiyaga

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ekibiina pmwegatira enzikkiriza mu ggwanga ki IRCU, kisabye wabeewo obukuumi eri abaana n’amaka wakati mu kweyongera kwómuzze gwóbuli bwebisiyaga mu ggwanga.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire enkya ya leero, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Anglican, Stephen Kaziimba Mugalu alaze obweraliikirivu nti bangi ku bavubuka basendasendebwa okulya obisiyaga nga babasuubiza ssente, ebintu n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

Kaziimba agamba nti yaddenga abantu abasendasenda abalala okulya ebisiyaga nabo bantu ba katonda wabula e kanisa tesobola kuwagira bikolwa bino ebikyamu.

Bwabadde asoma ekiwandiiko ku lw’abakulembeze b’eddiini abalala, Ssaabalabirizi Kaziimba ategeezezza nti wadde ebizibu by’ebyenfuna byeyongedde n’okunyigirizibwa okulala ku maka, Bannayuganda bakubirizibwa okuyimirira nga banywevu ku bikemo ebiyinza okwonoona obulamu bwabwe.

Asabye gavt okusaawo ebifo ebibudabunda abantu abakosebwa nomuzze guno.