Amawulire

Bannaddiini bakulembere olutalo ku nguzi

Ali Mivule

December 2nd, 2013

No comments

anti corruption message

Abakulembeze b’amadiini basoomozeddwa okukulemberamu olutabaalo lw’okulwanyisa enguzi,mu Uganda yonna .

Kati Faaza Gaetano Batanyenda nga ono ‘yakulira akakiiko akataba enzikiriza ez’enjawulo mu bitundu bye kigezi,atugambye nti mu kaseera kano waliwo abakulu b’amadiini abatandise okupondoka  nga babikkirira.

Ono agamba nti singa abantu nga bano batandika okutya okwogera ku nguzi,tewali kubuusabuusa enguzi ebeera emaze okufuna ettaka egimu.

Faaza  agamba nti abakulira amaddiini basaana bakomye okukkirizanga obulabolabo okuva mu bantu nga bano .

Ono kwogera bino abadde akuza ssabiiti ya buli bwanguzi etandisse leero

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *