Amawulire
Bannabyanjigiriza bawagidde ekya minisitule okukuuma omutindo gwé bibuuzo
Bya Ivan Ssenabulya,
Ekibiina omwegatira bannyini masomero agobwannanyini ki Federation of Non-State Education Institutions, kiwagidde entekateeka ya minisitule eye byenjigiriza obutassa bubonero okwókuyisiza abayizi abagenda okukola ebigezo ebyakamalirizo.
Olunaku lweggulo ekitongole ekivunanyizibwa okutegeka ebigezo bya bayizi ekya UNEB kyafulumiza time table erambika ddi ebibuuzo webitandika.
Abayizi be kyomusanvu bakukola ebigezo nga 30th -31st March 2021, aba siniya 4 bakola nga 1st March -April 6th 2021 ate aba siniya 6 bakola nga 12th April – 3rd May 2021.
Akulira entekateeka ye bibuuzo bino mu UNEB, James Turyatembe yategezeza nti bakusigala nga bakuumye omutindo gwe bibuuzo bino era si bakukakanya ku bubonero obwokuyisizako abayizi yadde nga abayizi bafunamu okutatagana ne mbeera ye kirwadde kya covid-19.
Wabula mu kwogerako ne Dembe FM ssabawandiisi wekibiina omwegatira amasomero agobwannanyini Patrick Kaboyo awagidde eky’okukuumira ebibuuzo by’abayizi ku mutindo omutuufu.