Amawulire

Bannabyabufuzi begasse ku bannaddiini okupeeka Gavt eggule amasinzizo

Bannabyabufuzi begasse ku bannaddiini okupeeka Gavt eggule amasinzizo

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Bannabyabufuzi wamu ne bannaddiini abaddukira mu kkooti etaputa Ssemateeaka nga bawakanya ekya gavumenti okusigala ngegadde amasinziro, batusiza buto okwemulugunya kwabwe Bagala gavt eggule amasinziro wakati mu kugoberera ebiragiro ebyayisibwa mu kutangira ekirwadde kya covid-19.

Ku bano nga kuliko ssabawandiisi wekibiina kye byobufuzi ekya Alliance for National Transformation (ANT), Alice Alaso, Dr Zedriga Alina, amyuka senkagale wekibiina kya NUP, Ronald Balimwezo Nsubuga, omubaka wa Nakawa East mu palamenti bagasse ku bannaddiini okuli pastor Michael Kiganda owekanisa ya Glory to Glory Ministries, Sheikh Asuman Semakula Lule nábalala mu kubanja gavt eggule amasinzizo.

Bano bagamba nti sikyabwenkanya amasinzizo okusigala nga maggale kyokka nge bifo ebyomugoteko bingi wano mu ggwanga ebigule okuli zi paaka, akeedi ne birala