Amawulire

Bannabyabufuzi beebuuza obuvumu Gavt gyebujja okusenza bannansi ba Afghanstan

Bannabyabufuzi beebuuza obuvumu Gavt gyebujja okusenza bannansi ba Afghanstan

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2021

No comments

Bannabyabufuzi batandise okusoya gavt ya NRM ebibuuzo ebyekuusa kukukuuma eddembe lyobuntu eryooke ebudamye bannansi ba afghanstan abadduse obukambwe bwa Bataliban.

Okusinzira ku senkagale we kibiina kye byobufuzi ekya Alliance for National Transformation (ANT) Rtd Maj. Gen Mugisha Muntu, bannansi ba Afghan bali mukudduka ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu oluvanyuma lwa bateliban okuwamba obuyinza kyokka ne mu Uganda gye baddukidde ebikolwa bino gyebiri.

Alipoota ezénjawulo ezize zikolebwa akakiiko akalwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga lino zizze ziraga nti abakuuma ddembe bakwata kisooka mu kulinyirira eddembe lya bannasi

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, Muntu agamba nti yadde nga asaasira banansi ba Afghan, gavt ya Uganda erina okusosowaza ensonga yokukuuma eddembe ryobuntu nokukola ku biruma bannauganda nga bannakasese ababonabona na mataba.

Uganda esuubirwa okubudamya bannansi ba Afghanistan abasoba mu 2000.

Wabula gavt egamba nti tewali munwe gwannusu gwegenda kusasanyiza ku bantu bano kuba America yakubawa buli kimu.