Amawulire

Bankuba kyeyo basabiddwa okukolagana

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Binoga

Bannayuganda abagenda ebweru okukuba ekyeeyo basabiddwa okutondawo enkolagana n’ebitebe bya Uganda mu mawanga gyebakola kko n’ebibiina ebibatwalayo

Kiddiridde omuwendo gwa bannayuganda abavundira mu makomera okweyongera mu mawanga agatali gamu

Bino byogeddwa akulira poliisi erwanyisa abakukusa abantu Moses Binoga bw’abadde asiibula bannayunga abasindikiddwa okukolera mu ggwanga lya United Arab Emirates.

Binoga bano abakuutidde obutayimirira bokka wabula bakole omukwano ku kitebe ky’eggwanga gyebasindikiddwa n’okutondawo oluganda wakati waabwe kubanga teri ayinza kuyimirira yekka ku mawanga

Abasindikiddwa mu ggwanga lino bagenze kukola bwa dereeva, bukuumi n’okwaniriza abagenyi mu ma kampuni agatali gamu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *