Amawulire

Bamuwasa buto 2 bakwatibbwa e Jinja

Bamuwasa buto 2 bakwatibbwa e Jinja

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2021

No comments

Bya Kirunda Abubaker,

Poliisi mu kibuga kye Jinja eriko abalenzi 2 bekutte, mu myaka emito ku byokuwasa muto munaabwe, owemyaka 13.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira nga ye James Mubi agambye nti abalenzi bano bombi bali mu myaka 14.

Mubi agambye nti bano babadde bapangisa akazigo ku Katende road mu divizoni ya North, webabadde babeera nomuwala ono.

Mubi agambye nti omuwala ono yali abeera ne jajja we, naye yaddukayo natandika okubeera nabalenzi bano nga bamuwasa.

Wabula kigambibwa nti abaddenga addayo jajja namubbako ssente, nazireeta nga zebakozesa okwebezaawo.

Poliisi kino ekitadde ku bulagajavu bwabazadde eri abaana baabwe.